
Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo
OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'.
Nantongo eyawerekeddwako maneja we Michael Judus ku Lwokutano yakyadde e Mmengo mu offiisi ya Katikko era eno lyabadde ssanyu jjereere nga Katikkiro amusiima nti y'omu ku bayimbi abamuyimbira ennyimba ezimunyumira era n'amukubirizza okugenda mu maaso.

"Nantongo kyakulabirako eri abato ne bannabitone. Katonda yamuwa eddoboozi eddungi era alikozesezza okutuyimbira ennyimba ezitusanyusa ate okuyimba si kusanyusa kyokka okuyimba mulimu era abayimbi bagatta kinene ku by'enfuna by'eggwanga.
Ennyimba za Nantongo zinnyumira. yasooka n'ayimba ‘Nsika' nga n'omuntu simumanyi naye ng'oluyimba lunyuma n'endala nnyingi." Katikkiro bwe yagambye.

Katikkiro yakubirizza abayimbi okukozesa ebitone Katonda bye yabawa ate si kubikozesa kyokka naye nga balina gye bagaala okutuuka.
Yannyonnyodde nti "oteekwa okuba n'ekiruubirirwa mu lugendo lwo oba mu ky'okola ng'olina w'oyagala okutuuke ekyo kye kigenda okuyamba okuluyitamu ne bw'osanga ebizibu tatya era tagwamu maanyi era ndowooza ne Natongo bw'atyo bw'ali.

Ye Nantongo eyalabise nga musanyufu bya nsusso yagambye nti "Nze ani Carol waabwe ayimba ebinyumira Katikkiro. Kitiibwa kya Mukama era ng'enda kwongeramu amaanyi ne corona wadde atumanzeko emirembe tetukyakola naye obubaka bw'enfunye bunzizizzamu amaanyi n'essubi kati ng'enda kwongeramu maanyi"
