TOP

Afuumudde muganzi we lwa kumutiisa kumutta

Added 28th October 2020

OMUKAZI anaabidde muganzi we mu maaso n’akwata ebintu bye n’abimuweera ku poliisi ng’agamba nti amukooye olw’obutaba na buvunaanyizibwa n’okumwewerera okumutta.

Ssebbaale ng'asibye ebintu bye ku ggaali agenda.

Ssebbaale ng'asibye ebintu bye ku ggaali agenda.

OMUKAZI anaabidde muganzi we mu maaso n'akwata ebintu bye n'abimuweera ku poliisi ng'agamba nti amukooye olw'obutaba na buvunaanyizibwa n'okumwewerera okumutta.

Faridah Nairuba 40, omusuubuzi w'ennyanya ye yafuumudde muganzi we Abubaker Ssebbaale 30, avuga bboodabbooda gwamaze naye emyaka 9.                                                                                                                                                                                                               (Wano Nairuba ng'ali ne muwala we.)

Nairuba Ne Muwala

Ssebaale yagambye ebbanga ly'amaze ne Nairuba buli lubuto lwabadde afuna ng'alujjamu ekyamuwaliriza okufunayo omukazi omulala n'amupangisiza kyokka n'asigala ng'asasulira Nairuba ennyumba n'okumugulira emmere kyokka yeewuunyizza okugenda awaka n'asangayo omusajja omulala.

Nairuba yategeezezza nti alina abaana 7 be yazaala mu musajja omulala  ng'era Ssebbaale yamubuulirirawo ng'amukwana. Kyokka ekyasinze okubatabula ye Ssebbaale okutuuka awaka ku Lwokuna lwa wiiki ewedde n'asanga omusajja mu nju eyali yegamye enkuba n'alowooza nti muganzi we. Kino kyatabudde Ssebbaale n'ayomba nga bwatiisa n'okumutta ekyamumazeemu amaanyi naye n'asalawo okumwetegula n'amugoba.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.