TOP

Tamale Mirundi awolerezza omutabani ku bya Don Zella

Added 26th January 2021

EBIFAANANYI ebiraga Tamale Mirundi Junior mutabani wa Tamale Mirundi nga benywegera ne Nalongo Don Zella nkubakyeyo mu Amerika n’okutuusa kati bikyayogeza abantu obwama.

Abamu beebuuza oba ddala bano bali mu laavu eri ‘siriyaasi' ate abalala nti kiki omwana ono omuto ky'anoonya ku Don Zella omukazi omukulu.

Don Zella eyali muganzi w'omuyimbi Big Eye era ng'amanyiddwa okwekola obusolosolo ku mikutu gya social media y'omu ku basama abajja okulya Ssekukkulu era yajja n'abaana be bonna.

Nga yaakatuuka yasooka kutegeeza nga bw'alina omuvubuka omupya amulya obwongo era n'asuubiza okumulaga abawagizi be kuba balina we batuuse mu nsonga za laavu.

Ku wiikendi ebifaananyi ebiraga ababiri bano nga benywegera n'ebirala nga bali mu mbeera eya laavu byatandise okusaasaana ku mikutu gya Social Media ne bikakasiza ddala nti ono bulijjo gw'abadde ayogerako.

Wadde ebifaananyi bino byakanze bangi, ye Tamale (taata) ng'ali ku ttivvi emu bwe yabuuziddwa ku kya mutabani we okuganza Don Zella, yamuwolerezza n'agamba nti ye takirabamu buzibu.

"Kati mubadde mwagala anywegere mbuzi? Oba yakutte kaana kato? Kati ebyo temuddamu kubimbuuza," Tamale eyabadde ayanukuza obukambwe bwe yasoose okwogera.

Oluvannyuma yatandise okuseka nga bw'agamba nti "naye mwe abagamba nti mutabani wange yakoze kikyamu mwe temumanyi nti abo abantu (abadongo n'abali b'obulamu) babeeramu era y'ensonga lwaki muwagizi wa Bobi Wine) Nange kennyini namukubidde ku ssimu nga mubuuza ku nsonga yeemu kyokka yanzizeemu nti ggwe nga baakukuba mu Bukedde ng'oli n'omukazi omulala?

Yayongeddeko nti "Ssinga abadde mutabani wange munnamateeka akola ku palamenti oba omu ku batabani bange abasawo nga ye yaganzizza Don Zella nandyewuunyizza era sandimukkiriza.''

TAMALE JUNIOR YEEWOLEREZZA

Bwe yabuuziddwa ku nkolagana ye ne Don Zella, Tamale Junior yasoose kwewuunya bantu abamwogerera n'okumulangira okuganza omukazi amusinga emyaka ng'agamba nti bano tebamanyi kye boogerako.

"Kituufu ndi muto ku Don Zella kuba nze nnina emyaka 23 ate ye ali mu 30 naye ate tetuli mu laavu nga bwe mulowooza. Tuli ba mukwano nnyo era mwagala nnyo olw'embeera ze.

Okwenywegera kwe mufudde ensonga nakikoze kuba oli mukyala Mumerika era ewaabwe gy'abeera kya bulijjo tekitegeeza laavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...