TOP

Ono bamukubye akalulu e Mengo n'azirika

Added 27th January 2021

KATEMBA abadde mu kifo awagattirwa obululu e Kololo owa NRM Kayigo Kikulwe abadde yeeyita America olw'amaanyi ge kyokka nga b'avuganya yabakazaako lya Rwanda nga yeewana nga bwe batamusobola, bamukubye akalulu n'azirika.




Kabugo Kikulwe ng'ono kkansala abadde akiikirira Mengo yawanguddwa Ronald Sserwanja owa NUP.

Mu kulangirira akalulu baalabidde awo nga Amerika manya Kikulwe azirise ne badda mu kumuwujja era baamutute tamanyi biri ku nsi.

Wabula waabaddewo ebiyiting'ana mu bawagizi ba Kikulwe nti omuntu waabwe yakubiddwa bukubibwa abawagizi b'omulala eyavuganyizza nga bayambibwako abeebyokwerinda.

Ate ne Ssentebe wa Musaana mu Kisenyi, Saad Lukwago yeenyodde n'abaserikale nga mutabani we Fahad Lukwago awanguddwa munna DP, Rajab Mutebi nga takkiriza byalangiriddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...