
Kabako ne Jazirah nga bali mu mukwano
Asazeewo ye n'omwagalwa we Jazirah Namuddu laavu yaabwe bagitwale ku ddaala eddala era w'osomera bino bateekateeka kwanjula na mbaga.
Kabako obwedda ayogezza essanyu asoose kutegeeza nti "Bonna mbalabye, mu bivvulu gye nsula nga nnyimba ndabye bangi naye tewali asinga Jazirah era sirina kirabo kyennyinza kumuwa olwa laavu gy'andaze okuggyako okukkiriza ng'ende annyanjule mu bakadde be nange mukube embaga n'ebyenda bimwetokote"
Kabako ne Namuddu basazeewo mu mwezi gwa April okugenda e Butambala bombi gye bazaalwa era nga we wagenda okubeera omukolo gw'okwanjula.
"Simanyi na lwaki nduddewo okusalawo kubanga kino kyendabye kinnyongedde maanyi. Okuva lwe nnalangiridde nti omukolo gwa April abantu bangi bankubidde amasimu n'abo be nsisinkana bakola gwa kunsanyukirako na kunsuubiza buyambi era bwe bitambula obulungi nze ndowooza sigenda kuteekamu ssente zange ndaba omukolo gufuuse gwa bawagizi na mikwano gya Kabako abakulemeddwamu Sheebah," bwatyo Kabakko bwe yagasseeko.
Bino byonna obwedda abyogera nga bwe yewaana nti " mwana nnina ‘embooko' ogirabye ate mmanyi okulonda oyinza okulowooza ono muto wa Zuena."