
Sipapa aleese omuyimba omupya n'akontola "awaava Serena Bata ne Brown Shugar wazzeewo ono ate muliro!
Mu mbeera ey'okulumya abayaaye nga enjogera y'ennaku zino, ono amufunidde Jose Chameleone gwe bakoze naye oluyimba ‘Number 2' nga bw'agamba nti abaagenda kale baasubwa.
Bino Charles Olimu amanyiddwa nga Sipapa owa SIPAPA entertainment abyogeredde ku Nanjing Hotel e Kololo ku mukolo gw'ategese ng'ayanjula mu butongole omuyimbi Aggie eyeegasse ku kibiina kye.
Sipapa asuubizza okutumbula ekitone kya mwana muwala ono era agamba amusuubiramu bingi okwawukanako n'abayimbi b'azze ateekamu ssente kyokka ne bamaliriza nga balemeddwa n'abamu okudduka mu kibiina nga balowooza bafunye nnyo era basajjakudde.
Ye Aggie mu kwogerakwe asoose kusiima Sipapa okukkiriza amuteekemu ssente ng'agamba nti abadde yanoonya dda omuntu ayinza okumukwata ku mukono kuba ekitone ky'okuyimba akirina naye nga tamufuna okutuusa Katonda bwe yamulaze Sipapa.
Ono bw'abuuziddwa oba taafaanane na bayimbi abalala abawala abagenze ewa Sipapa okubateekamu ssente ne bakomekereza nga bagudde mu laavu naye, azzeemu nti; "nze mmanyi ennaku yange ate ne Sipapa yasoose kumbuulirira nti eno nazze kuyimba so si kukola birala era ng'enda kufuba okusigala ku mulamwa kuba gye biggwera nze afunamu oba afiirwa"
Ono Sipapa amuwagidde bw'agambye nti "Aggie mulabamu ekyenjawulo tafaanana bawala b'azze akwata ku mukono kyokka olulaba ku ssente n'emmotoka ze ez'ebbeeyi ne bagwa amatu"