TOP

Omugagga Katsha De Bank yeeyubudde

Added 16th February 2021

" Nze nnali bubi, nnali mwavu nga siggwaako mabanja. Emisomo gyagaana saamalako yadde Haaya. Teri n'omu yali anzikiririzaamu, nange kennyini nga sekkiririzaamu. Naye kati ebintu byakyuka nnina kyendagawo," Katsha bwe yannyonnyodde.

Katsha De Bank (Shafique Katumba) omu ku Bannayuganda abakolera e South Africa gy'alina bizinensi ezenjawulo era omu ku bavubuka abamanyiddwa okulya obulamu n'eswagga buli lwe bayingirawo mu ggwanga mu December yeeyubudde.

Katsha yagguddewo ekibiina ekigaba obuyambi, okudduukirira abali obubi n'okuzzaamu abantu amaanyi nti kisoboka.

Bwe yabadde ayogera ku gyenvudde we ku Mmande, Katsha yategeezezza nti yadde musomo gwalema naye asobodde okwekolamu omulimu nga kati y'omu bagabira abaasoma emirimu ng'ayita mu bizinensi ze ez'enjawulo.

 " Nze nnali bubi, nnali mwavu nga siggwaako mabanja. Emisomo gyagaana saamalako yadde Haaya. Teri n'omu yali anzikiririzaamu, nange kennyini nga sekkiririzaamu. Naye kati ebintu byakyuka nnina kyendagawo," Katsha bwe yannyonnyodde.

Yayongeddeko nti okuva lwe yaggulawo kkampuni ye " Katsche Technology Group" ey'ebya tekinologiya ebintu byakyuka kati awadde abantu abasukka mu 200 emirimu.

" Newankubadde nze sirinnyangako Makerere University naye bangi ku bakozi bange baakuguka mu bya tekinologiya okuva e Makerere.," Katsha bwe yayongeddeko.

Gye buvuddeko, bwe yabadde e South Afrika ng'atongoza ekibiina kye ekigaba obuyambi ekya Katsha Education Foundation, yategeezezza wadde guli guyo, okusoma bulamu era we kutali obulamu bukaluba.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku batuuze abaabadde mu kkooti.

Kkooti etandise okuwulira o...

OMULAMUZI Yasin Nyanzi atandise ku nteekateeka y’okuwulira omusango gw’abatuuze b’e Nakawa abaasengulwa ku luguudo...

Bamasheikh bongedde bwiino ...

BAMASEEKA bongedde okuleeta bwiino akakasa ekiraamo Sheikh Nuhu Muzaata kye yakola ne basomooza abakiwakanya okuleeta...

Mulangira ng’aliko by’annyonnyola abayizi.

'Temusuulirira baliko bulemu'

ABAZADDE abalina abaana abaliko obulemu abagenda okutuula ebibuuzo bya P7, S4 ne S6 basabiddwa obutabasuulirira...

Baddereeva ba bbaasi zino baakawatiddwa, zino nga ziri ku poliisi e Lugazi.

Baddereeva ba bbaasi bali ...

POLIISI y'e Lugazi ekoze ekikwekweeto ku bavuzi ba mmotoka beesanze bazivuga okusukka ssaawa za kafiyu.. Ku...

Ku kkono Sophie eyeekubye Ttatu mu mugongo nga bw'afaanana ( ku ddyo).

ooo...Kalaso muka ng'erinny...

OMUGOLE wa Kalaso Kokoliroko omupya amutenda ‘obukambwe' obwalema mukyala mukulu, Ruth Musimenta okugumira n'amusibako...