TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Oluuso Diamond Platnumuz lwakubye Spice Diana lukanze Zari

Oluuso Diamond Platnumuz lwakubye Spice Diana lukanze Zari

Added 22nd April 2021

Wadde omuyimbi Spice Diana yeewozezzaako n’agamba nti okugenda mu maka gw’omuyimbi ow’erinnya e Tanzania, Diamond Platnumz baabadde ku bya bizinensi byokka, oluuso obwedda Diamond lwamuba lulese bangi nga beewuunaganya.

Spice ne Diamond nga bali mu kafubo

Spice ne Diamond nga bali mu kafubo

Enkolagana ya Spice Diana ne Diamond yasoose kukanga Zari Hassan eyaliko mukyala we n'amuzaalamu n'abaana babiri.

Atuwadde eggulire lino atugambye nti obwedda Spice ayogera ne Diamond kyokka nga tamuggyako luuso nga bwakutte ne ku mumwa ng'alinga eyeewuunya obulungi bw'omuwala ono n'okwebuuza ekiddako.

Ate okuva e South Afrika batugambye nti Zari bwe yalabye ababiri bano nga beegiriisiza mu maka ga Diamond agasangibwa ku bbiici y'e Mbezi Zari gye yabeeranga ng'ate ne langi wamu ne ffiga ya Spice Diana bitera okukolera Diamond n'atya nga kati n'omutima gwatandise dda okumutundugga.

Kuno bwe yagasseeko okumugabula ekijjulo eky'amaanyi mu maka gano agagambibwa okuba nti ge g'omuyimbi agasinga amaanyi mu buvanjuba bwa Afrika wamma nga toyinza buteesika. Tunaabiwulira!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...