TOP

Namutebi ku gw'okuyimba agasseeko ogw'obusawo

Added 29th April 2021

“Kati ndi musawo, myuziki ne bw’aba tatambudde bulungi sikyayinza kubulwa kyakulya.” Bwatyo Irene Namutebi abamu gwe baakazaako ery’omuyimbi w’engoma eng’anda bwe yeewaanye bwe yabadde alaga essanyu olw’okufuna digguli mu busawo.

Irene Namutebi ne mukwano.

Irene Namutebi ne mukwano.

Bya Martin Ndijjo

"Kati ndi musawo, myuziki ne bw'aba tatambudde bulungi sikyayinza kubulwa kyakulya." Bwatyo Irene Namutebi abamu gwe baakazaako ery'omuyimbi w'engoma eng'anda bwe yeewaanye bwe yabadde alaga essanyu olw'okufuna digguli  mu busawo.

Irene Namutebi ng'afa essanyu.

Olumaze n'agattako "Ebitabo biwedde kati kambakube omuziki nammwe mukkirize…" Kyokka abadde tannaba kukimalayo ne bamujjukiza nti bakyali ku muggalo.

Namutebi ye yayimba ennyimba nga: Ekyapa (ne Gravity Omutujju), Gwalubeerera, Abadde Katonda wange (ne pasita Mondo) n'ennyimba endala. Y'omu ku bayizi abatikiddwa leero ku Kampala yunivasite.

Ono yeewangulidde digguli mu ‘public health' kyokka agamba nti wadde obuwanguzi abufunye naye tebibadde byangu.

"Okusoomoozebwa okusinga kubadde kukwataganya bitabo n'okuyimba. Buli kimu kyetaaga obudde olumu mbadde nneesanga nga ntambudde mu bivvulu sisobodde kugenda ku ssomero ate ne corona bwe yajja ensomesa yakyuka ne batuzza ku yintanenti.

Naye Mukama wamanyi era mwebaza nti ansobosezza okutuuka ku buwanguzi buno." Namutebi bwagasseeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...