Akwataganye ne maneja we Sukuma owa Sukuma Entertainement ne xtreme Arts record label ne bakola ennyimba ezitandise okukubwa ku ttivvi ne leediyo ez’enjawulo nga beetegekera okuggulawo omuggalo.
Ennyimba ze yaakafulumya kuliko: Give me Love ne Vibe. Kyokka alina n’endala ze yasookerako okuli: Mu kidongo, Balibayo ne No Waste Time.

Eko bw'afaanana
Mu luyimba lwa Give mi love, Danz Ko asaba omuwala amulya obwongo okumulaga omukwano kubanga ye muntu yekka gwalowoozaako, alina ka ffiga, langi emukuba era gwasula alowooza nga ne bw’abeera mu kizikiza abeera ayaka
. Ekidongo kye yatadde mu luyimba luno ne sitayiro gy’ayimbiramu eringa y’aba Cheka Demus & Pliers era abantu baamukazizzaako lya Chaka Demus wa Uganda.
Ate olwa Balibayo agamba nti yakkiriza nti abaana abalungi gye bali ng’era gwe yafunye asana kumuwa akamotoka mwatambulira abasajja baleme okumusumbuwa.
Engeri loodi ono gy’ali omuyimbi, omuwandiisi w’ennyimba, akola obwa DJ n’obusuubuzi, yasazeewo okuteekamu omusimbi ng’agamba nti omuntu yenna anoonya ssente, alina okuyimirira mu kkubo ly’emikisa anti omukisa gugwira yeetegese.
Danz Eko 36, abeera Seattle Washington. Bw’aba tayimba anyumirwa nnyo emizannyo nga kati ye muwandiisi mu kibiina kya ‘’Pacific Northwest Ugandan American Association (PNUAA) 2020/2022’’.