Medi Moore alidde obulamu ne muninkini Omuzungu n'alumya abayaaye: " Ffe twakoowa situleesi"

“Kati nvuga kannamba…” bwatyo mwanamulenzi Medi Mooro abasinga gwe bamanyi nga Mr Uganda South Africa obwedda bwe yewaana ng’alya obulamu ne muninkini we Omuzungu.

Medi Moore ne muninkini we Omuzungu
By Martin Ndijjo
Journalists @New Vision
#Medi Moore #South Afrika

Yabadde omu ku Bannayuganda abeetabye ku kabaga k’okulyato akategekeddwa mu kibuga Cape town eky’e South Africa abamu kye bayise okweggyako ennaku ne situleesi ya Covid 19.

Akabaga kano akajjumbiddwa ennyo keetabiddwako Bannayuganda abamanyiddwa okulya obulamu n’okumansa ssente okuva mu bitundu by’e South Africa aby’enjawulo.

Medi Moore (wakati) Ne Mikwano Gye Ku Lyato

Medi Moore (wakati) Ne Mikwano Gye Ku Lyato

Meddie Moore yayingiddewo n’omuwala Omuzungu obwedda ayogeza abantu ababalaba obwama.

Waliwo abamubuuzizza lwaki alina Muzungu mu kifo ky’Omuddugavu kyokka ono yabazzeemu kimu nti "eno langi nze y'enkolera ate nnakoowa abawala abeeyerusa kale afunye Omuzungu omulundi gumu asinga okugwa ku w’ebizigo.”

Medi Moore Ne Muninkini We Ku Kato Akatono

Medi Moore Ne Muninkini We Ku Kato Akatono