Kasalabecca

Ronald Mayinja omuggalo gulabika tegwamukosa!

OMUYIMBI Ronald Mayinja kirabika tali bubi. Ng’eno banne bakyekwanywakwanywa okunoonya ssente ezibazza engulu mu kisaawe ky’okuyimba, ye yayingidde dda situdiyo akola ku nnyimba ze ezigenda okumuteera omugaati ku ssowaani mpozzi n’okufunamu ffiizi z’abaana be.

Ronald Mayinja omuggalo gulabika tegwamukosa!
By: Musasi waffe, Journalist @New Vision

Agamba nti pulojekiti gy’aliko ya nnyimba nnya kyokka ebbiri okuli: Labira ku nze ne Mukama abirimu zaawedde dda ng’ateekateeka kuzifulumya. Owoolugambo waffe atugambye nti wadde abayimbi bamaze emyaka ebiri nga bali ku muggalo, Mayinja alabika tali bubi kubanga ataddeko n’omubiri.

Mayinja ng'ali mu situdiyo

Mayinja ng'ali mu situdiyo

Mayinja yategeezezza nti Pulezidenti kaabatadde, kye kiseera baddemu okwetereeza bakole ennyimba, okusanyusa abantu n’okukulaakulanya ebitone byabwe nga bwe beetegekera obukadde kubanga gino emyaka ebiri gye bamaze nga tebakola libadde ssomo gye bali.

Mayinja ng'annyonnyola.

Mayinja ng'annyonnyola.

‘‘Kati nkubiriza buli muyimbi okukola nga bw’atereka ku ssente n’okwetegekera okumuyambako mu mbeera ng’eno gye tubaddemu kubanga bangi abataalina mirimu mirala bakoseddwa nnyo’’. Mayinja yasangiddwa mu bitundu by’e Lungujja mu situdiyo ya Krocth eyitibwa ‘Jib Studios’ gy’ali kati mu kukwata ennyimba ze empya ku ntambi.

Yategeezezza nti ekiseera kino kimuwadde essomo era yakkiriza nti ebintu bye birimu Katonda kubanga ensi w’etuuse okukola obukozi nga tolina Katonda tokyasobola kumalako.

Bw’omubuuza ku by’obufuzi agamba nti ebyo byaggwa ate byawulayawula nnyo mu bantu nga kati ategeka muziki kuddamu kuweereza abantu be. Mayinja y’omu ku baddayirekita ba Golden Productions.

 

Tags:
Kasalabecca