Kasalabecca

Lujjumwa azzeeyo gy'azaalwa n'ajuna abayizi abateesobola: Abagulidde ebikozesebwa bya ttaamu nnamba!

Christopher Lujjumwa Kanyike amanyidwa nga Busujju Empya adduukiridde omulanga gw’abazadde n’abasomesa ku bbeeyi y’ebikozesebwa mu masomero eyeekanamye ebiviiriddeko n’abaana abamu okuba nga tebannalowooza ku kyakudda mu masomero.

Lujjumwa n'abayizi nga bawanise ebitabo ne ppeeni mu bbanga
By: Patrick Kibirango, Journalist @New Vision

Olw’omutima gwe omusaasizi azzzeeyo ku mu kitundu gy'azaalwa mu Mityana n’akwata ku katono kaalina naagulira abayizi bonna mu ssomero lya St. Agness Nursery and Primary School - Kikonge Mityana District ebikozebwa mu kusoma bya ttaamu nnamba .

Christopher Lujjumwa Kanyike ng'akwasa dayirekita w'essomero ebintu

Christopher Lujjumwa Kanyike ng'akwasa dayirekita w'essomero ebintu

Abayizi nga bawanise ebitabo n'ebintu ebirala ebyabaweereddwa Christopher Lujjumwa Kanyike

Abayizi nga bawanise ebitabo n'ebintu ebirala ebyabaweereddwa Christopher Lujjumwa Kanyike

Mu by'abagulidde mubaddemu ebitabo bya lusoma lwonna, buli mwana n'amuwa sseeti, ekkalamu ne ppeeni/empandiiso, essomero n'aligulira 'toilet papers', ebitabo by'abasomesa kko n’okusasulira abaana abamu eky’emisana kya ttaamu nnamba.

Lujjumwa ng'agabira abayizi ebimu ku bitabo

Lujjumwa ng'agabira abayizi ebimu ku bitabo

Lujjumwa agambye nti embeera y’ebintu mu ggwanga si nnyangu ate abazadde bataaguddwa Covid olwo nga ye omuntu alina omutima omusaasizi era ogulumirirwa abateesobola kwekuvayo nayamba ng’akwata ku katono kaalina waakiri abeeko ne bazza akaseko ku matama.

Abayizi nga balaga ebyabaweereddwa

Abayizi nga balaga ebyabaweereddwa

 Omutandisi w’essomero eryayambiddwa, Annet Kibuuka agambye nti Lujjumwa abajje wala kubanga babadde basobeddwa olw’omuwendo gw'abaana omungi ogwakomyewo nga tebalina bikozesebwa wadde ebitabo n’abangi babadde bakyalemeddwa okudda kati bagenda kudda kubanga omuzadde yeetaaga fiizi zokka ebisagadde byabaweereddwa.

Christopher Lujjumwa Kanyike ng'ayambibwako omuyizi okusitula ebyabaweereddwa

Christopher Lujjumwa Kanyike ng'ayambibwako omuyizi okusitula ebyabaweereddwa

Tags:
Lujjumwa
Mityana
St. Agness Nursery and Primary School - Kikonge Mityana

Emboozi Ezifanagana