Olunaku luno lukuzibwa nga nga February 14, 2022. Eno abavubuka baamuyiikidde nga buli omu ayagala okuzinako naye waakiri amukwateko mu kiwato.

Vivivan Tendo ng'akuba abantu omuziki ogwakutte wansi ne waggulu.

Wano ng'ebyana bimusazeeko
Bwe yavudde eno yamalidde ku Club ya Gabbos Inn e Kayunga gye yakubidde abaayo omuziki gwe gwonna okuva ku buyimba obukadde bwe yatandikirako omuli Hajjati wa Hajji, onkwata nga Onyango, Mu kati, Bw'olwawo n'endala nnyingi ezacamudde abadigize naddala abavubuka olwo ne balyoka bafuuweeta ebbidde kumpi kulimala mu birabo.

Wano ng'omuziki gukutte abawagizi.