Banne babadde bakyebuuza kye yagenze okukola yo, bagenze okulaba bifaananyi bye (Medi) ng’ali ne Prima Kardashi eyali mukyala w’omuyimbi Geosteady ne bawukana n’afuna DJ w’okuleediyo Mr Henrie nga gwali naye bapepeya na kunyumirwa bulamu.
Ebifaananyi bino byogezza abantu obwama, buli obwedda abiraba ayogera bibye, abamu obwedda bakungirizza Medi Moore butawooneka ate abalala nti yandiba nga akutte Mr Henrie mu liiso.
Wadde nga Prima atera okutambula ne muninkini we Mr. Henrie, ku mulundi guno kirabika yamulese Kampala.
Medi Moore bw'abuuziddwa ku nkolagana ye ne Prima ne kye baliko e Dubai ono ataayagadde kwogera kiwanvu ku nsonga zino azzeemu kimu nti “Sirina budde bwogera ku nsonga eyo, nze nagenze ku ntujju ya ‘Real life summer festival’ bw’oba oyagala buuza Prima.”