Kasalabecca

Teta Sandra, muka Weasal agugumbudde Daniella okweyingiza mu nsonga z'obufumbo bwe

Teta Sandra, muka Weasal agugumbudde Daniella okweyingiza mu nsonga z'obufumbo bwe
By: Frank Lukwago, Journalists @New Vision

Akatambi ka Teta Sandra, muka Weasal akalimu obubaka obulumba Daniella muka Jose Chameleon ne Maama Ghetto (muka Buchaman)  okwesonyiwa ensonga z'obufumbo bwe ne Weasal katabudde aba 'Sosolo' Media buli omu n'ayogera bibye ng'abamu bagamba nti si kirungi kweyingiza mu nsonga zitakukwatako, buli omu afe ku mudaala gwe!

Mu katambi, Teta eyabadde mu mbeera y'obukambwe naye ng'ayogeza bukkakkamu yagugumbudde Daniella okweyingiza mu nsonga z'atamanyiiko mutwe na magulu.

Daniella Atim muka Chameleon ate ku ddyo Weasal ne Teta

Daniella Atim muka Chameleon ate ku ddyo Weasal ne Teta

"Leero njagala okwogera ku bintu bye nzize ndaba ku Social ebinkwatako. Nneebaza Daniella ne Maama Ghetto olw'okulaga okufaayo. Wabula mbasaba mu buwombeefu beesonyiwe ensonga za ffamire yange kuba byonna bye boogera bya ng'ambo , teri n'omu yali ankubiddeko kumbuuza kiki ekiriwo oba ekyaliwo," Teta bwe yagambye mu katambi.

Ono agamba nti yalibadde muntu mulala naye ssi Daniella gw'atwala nga owa ffamire okumala googera n'okuwandiika nga tasoose na kumukubira ssimu kumubuuza kiriwo oba ekigenda mu maaso.

Teta ali e Rwanda mu bazadde be wamu n'abaana agamba nti ekimala kimala, akooye ebimwogerwako ku mutimbagano nga n'ebisinga bijweteke, tebiriiko mutwe na magulu n'agamba nti alwanye nnyo okuzimba erinnya 'Teta' n'olwekyo tayagala kulaba ate balissa wansi kutuuka ku ssa eryo. 

Tags:
Teta Sandra
Jose Chameleon
Weasal
Daniella Atim

Emboozi Ezifanagana