Bangi baabadde beesaze obuwero okulaga emibiri nga n’abasinga tebataddemu buleega mabeere ng abwe bazina ne nkulabira.
Mu kiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga, waabaddeyo abayimbi ab’enjawulo abaakubidde abadigize omuziki ogwabalaludde ne bazina amazina aga buli kika, abasajja okusitula abakazi n’okuzina nga beenyiga eminyigo nga balinga abali ku ‘kiro more’ soma ‘kiro moo’ n’abamu nga bwe basaba abateesiteesi ekivvulu bakyongezeeyo beebinukire.

Ono obukoowu ndowooza bwamutumye kwebaka mu muddo.
Omuyimbi Cindy bwe yasuddemu ennyimba nga ‘Ayokyayoka, Boom Party, Copy Cat, Do dat, Run this City ekitundu ne kitabuka. N’abadigize abaabadde mu buweema nga beebase baavuddeyo ne beegatta ku bannaabwe ne lukoya. Baabadde nga abazikira ate ne zireeta Navio naye n’abookya omuziki.
Oba ono essimu ye yabadde agimuwa kukola ki!Nze naawe........
Abadigize baavudde mu Uganda n’ensi z’ebweru nga n’Abazungu baabaddeyo mu bungi.
Abakazi bazze bambadde emisono egya buli kika kyokka ng’ekisinga gya kookoonyo era abasajja obwedda bali mu bukuukuulu nga beebaza Mukama okutonda ekitonde ekikazi n’akissa mu ggwanga Uganda ng’eno abamu bwe bawoza nti, ‘era kale, eno ofuna essanyu ne likumalako situleesi ya economy efuuse economy ne ffiizi z’abaana’.

Omu ku badigize yategeezezza nti erinnya Nyege Nyege lituukira bulungi ku kivvulu kino kubanga ebbinu eribeerayo ne bw’oba oli mulwadde weesange oli mu kubinuka.