Kenzo yagambye nti kyali kizibu okukkirizisa omutegesi okukyusa ekivvulu kino okukijja ku nnusu omutwalo ogumu gwe babaddenga basaba abantu ebbanga lyonna okudda ku mitwalo ebiri.
Kenzo ng'akuba ab'e Mukono omuziki
“Omutegesi yalina okutya nti ssinga tukiteeka ku mitwalo ebiri kiyinza okubeera ekizibu abawagizi okukyettanira. Wabula ndi musanyufu kuba muzze mu bungi,” bwe yagambye.
Yategeezezza nti buli kimu mu kiseera kino kiri ku buseere omuli ensimbi ezipangisa ekifo, ebyuma n’abakozi, ensimbi eziranga ebivvulu n’ebirala nga kizibu okusigala ku ssente enkadde n’omalako mu kiseera kino eky’embeera y’eby’enfuna eyeekanamye.
Abantu nga bakuba ddansi.
Kenzo yalinnye ku siteegi ku ssaawa 6:00 ogw’ekiro mu ttumbi n’annyuka ku 8:00 era yayimbye ennyimba ezisoba mu makumi 20 okuli empya n’enkadde era yalese abawagizi tebatoma.
Ekivvulu kino era kyetabiddwako abayimbi abalala okwabadde Sewa Sewa, Christopher Panda, bakazannyirizi okuli Kalera, Madrat ne Chiko ssako Bobi Brown ne Nilo Nilo.