Kasalabecca

Martha Mukisa tasaaga naye abawagizi be musaaga nnyo!

Martha Mukisa alayidde okujjuza Freedom city omulundi oguddako

Martha Mukisa tasaaga naye abawagizi be musaaga nnyo!
By: Ignatius Kamya, Journalist @New Vision

Martha Mukisa tasaaga naye abawagizi be musaaga nnyo! Alayidde okujjuza Freedom city omulundi oguddako.

Abamu Ku Bawagizi Abaagenzeeyo Okunyumirwa.

Abamu Ku Bawagizi Abaagenzeeyo Okunyumirwa.

Omuyimbi  Martha Mukisa eyakuyimbira “Sango”, “busy” n’endala yeeyamye nti ekivvulu kye ekinaddako kijja kujjuza Freedom City ewuume kubanga yeeyongera maanyi. 

Lu Lwokutaano lwa wiiki ewedde kyabadde kivvulu kye kye yatuuma Sisaaga Live in concert ekyabadde ku Freedom City wabula tekyajjumbiddwa bulungi.

Martha Mukisa Nga Yakaayakana Ku Siteegi Kwe Yazze Ng'essanyu Limubugaanye.

Martha Mukisa Nga Yakaayakana Ku Siteegi Kwe Yazze Ng'essanyu Limubugaanye.

Abamu ku bantu baagambye nti ensonga eyaleese kino kye ky’okuba nti abantu bakyalimu okutya olw’enjega eyagwa mu kifo kino we yategekedde, omwaka oguwedde. 

Ono eyazze ku siteegi ku ssaawa ttano ez’ekiro n’asabula abantu omuziki okutuusa ku ssaawa 8:00, bakira ayimba ng’eno bw’ayita abayimbi abalala okumwegattako ku siteegi olwo ne bakuba abaabaddeyo omuziki. 

Vinka Ng'ayimba Mu Kivvulu.

Vinka Ng'ayimba Mu Kivvulu.

Mukisa yagambye nti newankubadde nga ekivvulu tekyajjumbidwa ku mulundi guno, kino tekyamumazeemu maanyi era akimanyi bulungi nti ku mulundi oguddako agenda kujjuza ekifo ekyo kibooge n’okugoba bagobe. 

Mu ngeri y’okumuzzaamu amaanyi, Eddy Kenzo nga yakola naye oluyimba lwa Sango ezimu ku zisinga amaanyi mu nnyimba ze yamusuubiza okumuwaayo collabo endala ayongere okumuyambako okutumbula ekitone kye. 

Alien Skin Ng'ayimba Ewa Martha Mukisa.

Alien Skin Ng'ayimba Ewa Martha Mukisa.

Okwawukanako ku bayimbi abamu ababadde bategekanga ebivulu ne bayomba olwa bannaaabwe obutababereerawo, ekya Martha Mukisa kyabadde kirala anti baagenzeeyo mu bungi era ne baweebwa obudde okuyimba. 

Ku bano kwabaddeko Kenzo, Eddy Yawe, Vinka, Nina Roz, Karole Kasiita, Spice Diana, Lydia Jazmine, Zafaran, Alien Skin, Navio n’abalala bangi. 

Abamu Ku Bawagizi Be Abazze Nga Banyumirwa Omuziki Gwe.

Abamu Ku Bawagizi Be Abazze Nga Banyumirwa Omuziki Gwe.

Tags:
Kasalabecca
Martha Mukisa