Miss Uganda omulonde ayuugumizza Nakaseke gy’azaalwa bwe yazzeeyo okubeebaza olw’obuwagizi n’essaala ze baamusabira ng’agenda okuvuganya ku bwannalulungi bwa Uganda bwe yatuukako nga March 18, bwe yawangula banne bwe baali babbinkana ku bwannalulungi. Karema Ng'atuuka Awaka Mu Mizira.
Hannah Karema Tukukunde Nnalulungi wa Uganda 2023/2024 baamwanirizza nga muzira era yasanze bamusimbidde ebitooke ku makubo, nga n’abantu bakwatiridde ku bbali g’enguudo wakati mu kumukubira enduulu ey’oluleekereke.
Karema Tumukunde Ng'abuuza Ku Batuuze Gye Yakulira.
Bangi baabadde bayaayana okumukwatako mu ngalo bawulire oba ddala akyali muntu ng’oli gwe baali bamanyi. Bakira abamu baggyayo n’obusimu okwekubyaako naye ebifananyi eno nga bwe bawaga nga bwe balina nnalulungi w’ensi yonna. Miss Uganda Ng'ali Ne Bazadde Be Omwami N'omukyala Bakarema.
Ono yatuukidde mu maka ga bakadde be gye bamuzaala era gye yakulira, Specioza Karema (omugenzi) ne taata we Godffrey Karema ku kyalo Kinoni mu ggombola y’e Ngoma gye yasanze nnamungi w’omuntu ssaako abataka b’okukyalo nga bamulindiridde era olwamaze okumwaniriza n’abagabula ekijjulo ekyabadde kitegekeddwa. Karema Ng'asimba Omuti Gye Yasomera.
Abazadde kata essanyu libatte nga balabye ku mwana waabwe eyabadde atikkiddwa. Baatulaze ennyumba y’essubi mwe baabakuliza wadde nga mu kiseera kino bazimbawo ennyumba ey’omulembe.
Ono yatuuseeko ku sSomero lya Kinoni p/s gye yasomera pulayimale gye yasanze abayizi n’abasomesa abaabadde bamulindiridde edda.

Karema Ng'ayogerako N'abaana E Kinoni Ps Gye Yasomera.
Baasoose kumuyimbira buyimba obumwebaza, oluvannyuma n’ayogerako gye bali. Yabakuutidde okusiga mu ssomero kubanga ekkalaamu terimba era ye ye yamuyambye okutuuka ku buwanguzi. Oluvannyuma yasimbye omuti nga ekijjukizo.

Miss Uganda N'abamu Ku Bawala Bwe Baavuganya.
Omukolo ogumwaniriza gwabadde ku kitebe ky’eggombola y’e Kinoni. Wano yasanze yasanze namungi w’omuntu amulinze era yayaniriziddwa ssentebe w’eggombolola ya LC3 Ham Nahurira era n’aweebwa ne yafeesi nnamba mw’agenda okukakkalabiza emirimu gye. Miss Uganda Ng'ayogerako N'abataka B'oku Kyalo Kwe Yakulira.
Mu kwogera kwe, Kare a yasibiridde abantu b’ewaabwe entanda omwabadde n’abattaka n’abakuutira okuweerera abaana ab’obuwala baleme kufa ku balenzi bokka kubanga naye abazadde okumusomesa kyamuyamba okutuuka ku buwanguzi buno. Oluguudo Lwe Baataddeko Akapande.
Ono yalaze okunyolwa olw’obutabaawo na ssomero lya Siniya ku kitundu gy’azaalwa era yategeezezza nga bw’agenda okuwoma omutwe mu kuzimba essomero lya siniiya erigenda okutuumwa Kinoni Seed Secondary School nga wano yawaddeyo ensawo za seminti 20 ng’entandikwa.
Miss Uganda Ng'ali N'abasawo Ku Ddwaliro Lya Kinoni Health Centre 3.
Abataka bakaanyizza kimu olw’ekyamagero Karema kye yabatusaako nga ekyalo era bano baamubuddemu oluguudo nga ekijjukizo lwe baatuumye Hannah Karema Tumukunde Road. Miss Uganda Wakati Ng'agabula Bazadde Be N'abantu Abalala Ekijjulo Kye Yabategekedde.
Bazadde Godfrey Karema ne mukyala we bannyonnyodde nti Karema baamulabirawo okuva mu buto bwe nga muwala mujagujagu wadde tebaamanya nti alituuka ku kitiibwa nga kino.
Tumukunde Ng'alambula Essomero Lya Kinoni Primary School We Yasomera.
Basiimye Katonda olw’okumubikakko akasubi. Ono mu kugenda yawerekeddwako banne bwe baali baavuganya okuli Vivian Boonabana, Miss Uganda West, Prima Agwanga eyakwata ekyokusatu, Sonia Wanyanya ne Christine Nakimera abamu ku batuuka ku mpaka ez’akamalirizo. Taata Wa Miss Uganda Godfrey Karema Mu Ssuuti Eya Bbulu N'abamu Ku Bantu Abaamutegekedde Akabaga K'okumuyozaayoza.
Brenda Nannyonjo akulira empaka zino yasiimye taata wa Miss Uganda mwami Karema olw’okwewaayo okuweerera abaana be yadde nga yali abasigazza yekka nga omusajja oluvannyuma lwa nnyaabwe okufa.
Yagambyre nti eno y’emu ku nsonga kubanga kye kimu ku nsonga lwaki muwala we muwanguzi. Yasabye abazadde abalala okukitwala ng’ekyokulabirako baleme kufumbiza baana baabwe nga tebannaba kwetuuka.