Kasalabecca

Ssanyu: Omuwala aweereza Mukama abeera ku ‘sure win’

Ssanyu: Omulokole Kimba Shakira Nakiyemba akubuuzaako.

Kimba Shakira Nakiyemba
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Sisita, yimirirako katono nkubuuze. Wano ndi wa?
Ggwe obadde olaga wa?

Simanyi gye ndaga. Gye nkulaba okwata nange gye nkwata, ngoberera bugoberezi

Ongoberera onjagaza ki nze gwe waakalaba?

Wali obaddeko awo ng’olina omuntu wo gw’oyagala nga buli kimu ky’alina kyekyo
kyennyini ky’obadde onoonya mu muntu gw’oyagala okubeera naye?

Oyo bwatyo nnali mbaddeko naye mu by’omukwano ogwaddala wabula twakita.

Abantu baakuno balina ettima! Kati balabika baabaloga ne mwawukana era ntere
nkusisinkane tweyagale?      Shakira Nakiyemba

Shakira Nakiyemba

Teri ddogo eri mwana wa Yisirayiri. Nze kasita nayatula obulokozi ne mmwesonyiwa.

Ky’ogamba ewuwo omuntu atali Mulokole talina ky’akugamba?
Ewange, olina okuba ng’oyagala Mukama nga nze bwe mmwagala, ng’oli mulungi ate ng’olina ky’ongattako.

Naye kati gwe eyalaba omusana, kiki ekikusibye mu bwannakyeyombekedde ng’ate oli muwala mubalagavu?

Nkyali mu buweereza bwa Mukama. N’ekirala, bakulu bange tebannaba kugenda mu bufumbo kati nze mpapa ki?

Mbuulira ku mannya go, gy’obeera n’omulimu gw’okola nkubuulire ekyama ky’obadde tomanyi?

Nze Kimba Shakira Nakiyemba mbeera Munyonyo era ndi muyimbi.

Wayimba nnyimba nga luli wa?

Nze nakuyimbira Njoya, Akalimu, Naakuwembejja naye kati nadda mu ‘gospel
music’.
Olwo kiki ekikugoba mu nnyimba z’ensi?

Nakizuula nti omuwala aweereza Mukama n’ebiseera bye eby’omu maaso biba bitangaavu. Abeera ku ‘sure win’ buli kadde. Vva ku bano abawagira Arsenal.

Muyimbi ki gwe wandyagadde okukola naye 'kolabo'?

Lexione y’asinga okunnyimbira obulungi.

Olowooza lwaki omugigi gw’aba ‘single mothers’ gweyongedde ensangi zino?

Abawala abasinga baava ku nnono ya bajjajjaffe. Abamu balowooza nti bw’azaalira omusajja ajja kumuwasa ekitali kituufu.

Ku maama wo ne kitaawo olowooza ani yasinga okukulaga ennyo ensi eno bw’etambula?

Mmange Zeridah Nantambi, omukyala oyo yanfubako bambi.

Mpaayo olunaku lumu lw’otogenda kwerabira ne bw’olibeera ku ndiri ng’olumbe lukubala embiriizi?

Olunaku amasannyalaze lwe gaali gankubye kata ganzite, sirirwerabira.

Bw’onooba omaze okufuna musajja wa Katonda ng’akutadde awaka, byakulya ki
ebitalina kubula mu kiyungu kyo?

Akawunga n’ebijanjaalo nga birimu omuzigo ne ovakkedo. Bye nsinga okwagala okulya era tebiyinza kubula mu kiyungu kyange.

Tags:
Ssanyu
Kimba Shakira Nakiyemba