Ekivvulu kya Bruno Betty wa Kayisanyo kyaleero e Kajjansi!

Jul 28, 2023

LEERO y’entujjo y’ekivvulu ky’omukozi wa Bukedde, Bruno Betty Kabwagu ekya Bruno Betty Experience Katemba mu binyaanyanyaanya e Kajjansi mu kisaawe.

NewVision Reporter
@NewVision

LEERO y’entujjo y’ekivvulu ky’omukozi wa Bukedde, Bruno Betty Kabwagu ekya Bruno Betty Experience Katemba mu binyaanyanyaanya e Kajjansi mu kisaawe.

Bwerufu Auto Parts Ng'akwasa Bruno Ssente Ze yaguliddemu Abantu Tiketi.

Bwerufu Auto Parts Ng'akwasa Bruno Ssente Ze yaguliddemu Abantu Tiketi.

Bruno awerekeddwako mikwano gye okuli Ssuuna Ben ne Mbaziira Tony ab’ebinyaanyanyaa, Mesach Ssemakula, Spice Diana, Bettina Namukasa, pasita Wilson Bugembe, Stabua Natoolo, Mawurana ne Reign, Bakayimbira n’abalala.

Okuyingira kuli ku 10,000/=,20000/= emmeeza 500,000/= ng’emiryango gigenda kuggulwawo ssaawa 4:00 ez’oku makya era wagenda kusookawo omupiira wakati wa bodaboda Kajjansi ne bodaboda Kawuku ssaako ogw’okubaka wakati wa bakyala ba katale k’e Kajjansi ne Kawuku era abawanguzi baakufuna ebirabo okuli embuzi, ssente enkalu n’ebirala.

Bruno Ng'ali N'abamu Ku Ba Tiktoker Bwe Baabadde Bakunga Abantu Okubaayo.

Bruno Ng'ali N'abamu Ku Ba Tiktoker Bwe Baabadde Bakunga Abantu Okubaayo.

Mu mbeera y’okukwasizaako Bruno abasuubuzi ba sipeeya ewa Kiseka okuli Long Wind auto part, Slyvia auto parts, Bwerufu auto part n’abalala bavuddeyo ne bamuwagira nga bagulira abantu tiketi z’okuyingira mu kivvulu.

Mable Kalule owa Deco paints e Kireka naye yamukwasizza 100,,000/= okuyambako mu nteekateeka era n'akunga  abantu okubaayo nga ne bannakinku ba Tik tok okwabadde CB Talker, Patricia ,Landlord, n’abalala nabo baakunze abantu okujja mu bungi babasanyuse.

Mable Kalule Owa Deco Paints Ng'akwasa Bruno Ensimbi Ze Yawaddeyo Okuwagira

Mable Kalule Owa Deco Paints Ng'akwasa Bruno Ensimbi Ze Yawaddeyo Okuwagira

Bruno yakoowodde abantu okujja mu bungi bamuwagire wakati mu kunyumirwa endongo kakundiiru, katemba ng’eno bwe bw'abanyumiza ku gye nvudde we ate nga n’ebirabo ebirala bingi byakuwangulwa.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});