Olwomukaaga kye kyabadde ekivvulu kya Katayira wa Bukedde Ffama Embuutikizi, Hannington Jjuuko, amanyikiddwa nga MC Maswanku kye yatuumye ‘The best of Mc Maswanku ku muzindaalo’.

Omuvubuka Ng'asimba akagere ate ddyo Ye Mc Maswanku.
Ono yabuutikidde Buloba n’endongo y’Ebinyaanyanyaanya ng’ekifo kyafunze ne kiwaliriza abamu ku badigize okulinnya emiti bajoote bulungi.

Aba Bodaboda Nga Batuusa Maswanku Mu Kivvulu.
Waasoseewo abayimbi abato ne bakuba endongo oluvannyuma abanene okwabadde Stabua Natoolo, Darx kartel, Kabako, Gift Nakimuli n’abalala nabo ne basanyusa abantu.

Maswanku Ku Muzindaalo Gw'asinga Okutegeeera.

Abamu baawalampye Emiti Okunyumirwa Ekinyaanya.
Maswanku baamutonedde ebirabo era yeebazizza abamufudde kyali okuli emikutu gya vision group etwala ne Bukedde, bakulu be Ssuuna Ben ne Mbaziira Tonny n’abalala.
Ekivvulu kya Maswanku kyategekeddwa Joel Promotions ne kiwagirwa Bukedde, Danna Events, Zoenah Zai Skin Beauty Center ne Gold Ama Cream liqueur era kitunzi wa Gold Ama Josephine Nakawunde yasiimye Bukedde olw’okukwata ku bavubuka n’okubawa omukisa okukyusa obulamu.

Suuna Ben Ne Mbaziira Nga Batabula Ekyuma.