Maureen Nantume, omuyimbi wa bbandi, okufaananako bayimbi banne Desire Luzinda, Nina Roz, Grace Nakimera ne Zanie Brown annyonnyodde ekyamulokosezza.
Nantume agamba nti okusalawo okusenza Yesu kyaddiridde ebbanga ly'amaze nga yeewadeyo eri Katonda.
"Waaliwo ekiseera we nnali nneetaaga okuwaayo omutima gwange eri Yesu Kristo. Bwe nakikola omwoyo gwange gwawummula mw'eno enzikiriza empya. Eno nkyukakyuka ya muggundu mu mutima gwange era ekyusizza engeri gye mbadde ntegeeramu Yesu Kristo," Moureen bwe yategeezezza.