EBIKUMI n’ebikumi by’abawagizi ba NUP e Kasese beeyiye mu lukuhhaana ggaggadde, pulezidenti w’ekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine’ lwe yakubye mu Kasese bwe yabadde aggulawo ofiisi z’ekibiina.
Kyagulanyi olwagguddewo ofiisi z’ekibiina n’akuba olukuhhaana mwe yasinzidde okusaba Bannayuganda obutaggwaamu maanyi nga balwanirira ensi yaabwe.
Embeera y’okuba nga abebyokwerinda ku mulundi guno babakkirizza okukuba enkuhhaana zaabwe awatali kubataataaganya, Kyagulanyi yagambye nti tekikoleddwa lwa kwagala, wabula kivudde ku kazito ke batadde ku Gavumenti n’egonda.
Abakuumaddembe yabasabye okukolagana nabo obulungi kuba akimanyi bulungi nti nabo banyigirizibwa era ng’essuubi ttono okubayamba. “Abakuumaddembe muli baganda baffe, bannyinaffe, tubeera nammwe mu Ghetto, muli yala nga ffe, temukkiriza kukozesebwa...” Kyagulanyi bwe yagambye.

Kyagulanyi yalaze obuwagizi bwe eri Omusinga we Rwenzururu n’agamba nti bwe banaamuwa entebe ajja kukakasa nti addamu okukulembera abantu b’e Rwenzururu awatali amutaataaganya.
Abantu b’e Kasese baalaze Bobi omukwano olw’engeri gye baamwanirizza ne batindigga eggendo ku bigere. Abakazi abamu obwedda baweese abaana nga bagenda badduka bayimba ennyimba ezimuwaana.
Eyali omubaka wa Busongora South, Jackson Mbaju eyasala okuva mu FDC ne yeegatta ku NUP, yagumizza Kyagulanyi ng’abantu be Kasese bwe baagala enkyukakyuka era nga mu kiseera kino yekka gwe balabamu essuubi ly’okununula eggwanga.
Abakulembeze ba NUP abawera baabaddewo okubuguliza Kyagulanyi okwabadde; Louis Rubongoya ssaabawandiisi wa NUP, Francis Zaake (Mityana Munisipaali),
Aisha Kabanda (mukazi/ Butambala), Hilary Kiyaga (Mawokota North), Hassan Kirumira (Katikamu South), Derick Nyeko (Makindye East), David Sserukenya (Makindye Ssaabagabo), ne Zahara Luyirika sipiika wa KCCA.
