Jackie Chandiru, ayawangula olutalo lw'ebiragalalagala alaze pulaani esobola okuyambi omuyimbi eyaliko Rocky Giant.
Chandiru, omuwagizi ow’amaanyi ku kulwanyisa okukozesa ebiragalalagala, agamba nti yandyagadde okuyambako Rocky Giant okuwangula omuze gw'okukozesa ebiragalalagala.
Agamba nti Rocky yeetaaga omuntu asobola okukwatagana naye ne bakubaganya ebirowoozo ku kabi akali mu kukozesa ebiragalalagala n'ayambibwa okubivvuunuka.
"Nkakasa nti Rocky Giant yeetaaga obuyambi n'okumanyisibwa okuva eri omuntu eyali abaddeko mu mbeera gy'alimu. Nzikiriza nti waliwo ensonga ezimuviirako okukozesa ebiragalalagala," Chandiru bwe yakakasizza.