Omutabuzi wa langi mu Kampala alaze Abatoro amaanyi ng'ayanjulwa kabiite we

Oct 28, 2023

OMUTABUZIi wa langi mu Kampala Tonny Tebakyayika alaze Abatooro amaanyi ssente ng'ayanjulwa mukazi we  TAgness Kansiime gw'akubyeko ebirabo katono bimukaabize mu kiddaala olw'essanyu.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUTABUZIi wa langi mu Kampala Tonny Tebakyayika alaze Abatooro amaanyi ssente ng'ayanjulwa mukazi we  TAgness Kansiime gw'akubyeko ebirabo katono bimukaabize mu kiddaala olw'essanyu.

Tebakyayika  nga ye nnanyini kampuni entabuzi ya langi eya TEBA PAINT CENTRE mu Kampala yasitudde abagagga n'abakungu ba Gavumenti bangi abamubugirizza.

Kuno yagasseko abamu ku bayimbi mikwano b'azze akwata ku mikono ne bassa ebbugumu mu mukolo.

Bano kwabaddeko Catherine Kusaasira Maama Kabina, Stabua Natooro, J Luzinda, Mike Wine, Gravity Omutujju ne Palaso n'abalala.

Okwanjula baakutaddemu VIBE era Tonny ne Agnes baalekedde Abatooro amafumu g'okunyumirwa n'okwewuunya Kawasa okuba n'omukono omugabi.

Minisita w'eggwanga ow'amazzi n'obutonde bw'ensi era omubaka omukyala owa Kalungu district mu Palamenti, Aisha Ssekindi wamu n'omubaka wa Kalungu East mu Palamenti, Francis Katabaazi Katongole be baakuliddemu abakungu ba Gavumenti.

Beegatiddwako bassentebe b'amagombolola okuli owa Bukulula; Sulaiman Bazadde Kaweesa n'owa Lwabenge; David Balemeezi Sseggawa.

Bo abagagga bakuliddwa William Abii Kigongo,Moses Byansi Kalyango owa Big Pig,Henry Muliinde n'akulira abavuzi ba Takisi mu ggwanga Rashid Ssekindi n'abalala bangi.

Tebakyayika awadde mukaziwe ekirabo kya mmotoka n'amugattirako ebyapa by'ettaka okuli n'amayumba byonna nga biri mu mannya ga Agnes Kansiime.

Kuno Tonny agasseeko mukoddomiwe Abwoli Sylvester Mugalaasi Sseggwanga y'enkoko  n'amugattirako Pikipiki empya.

Tonny awadde abazadde ebirabo bingi ,omuli n'ente 8 ezaaguze Omukazi ng'abeebaza okumuzaalira Agnes omulingi.

Tonny ne Agnes bagabudde abagenyi baabwe ebyassava n'okunywa era mu ssanyu beetabye nabo mu mazina nga bawerekerwako abayimbi olwo essanyu ne libuutikira ekidaala.

Mu kwogerako ne Bukedde,Tonny  yeebazizza mukyala Agnes Kansiime okukkiriza n'amwanjula mu bazadde nti olw'olwempisa ze n'okwagaliza kw'asinzidde okumuweesa ekitiibwa ekyo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});