KU Ssande e Kigoogwa mu disitulikiti y’e Wakiso, waabaddeyo dduwa y’okujjukira nga bwe giweze emyaka 3 bukya Shiekh Noor Muzaata afa.
Eno, eyali Namwandu Kulthum Nabunnya teyabaddeyo era eggulo ku Lwokubiri lwe yakoze dduwa y’eyali bba nga yagitadde mu maka ge Kawempe.
Ku mukolo gwe gumu, kwe yatolongolezza empaka z’omupiira okujjukira omugenzi Muzaata nga zaakwetabamu emizikiti egy’enjawulo mu Kawempe.