Nampijja acanze abakulu mu poliisi n'abambuza ennyonta
Dec 10, 2023
Mwana muwala Florence Nampijja azaalidde abaserikale ebitukula, bw’abacanze n’abambuza n’ennyonta.

NewVision Reporter
@NewVision
Mwana muwala Florence Nampijja azaalidde abaserikale ebitukula, bw’abacanze n’abambuza n’ennyonta.
Bino byabadde mu muzannyo ku Bat Valley Theater ng’olwo kafulu w’okuzannya
emizannyo gya siteegi, Male Musa ajaguza okuweza emizannyo 75.
Male Ne Nampijja Ku Siteegi
Kyana kiwala ki Nampijja mu gumu ku mizannyo egy’azannyiddwa ogwatuumiddwa Love Tear Ezigga ly’ente, yacanze b’afande ba poliisi okwabadde Male Musa ne Zamunyo bwe yabalaze omukwano ne gubamalamu okukkakkana nga poliisi bazifudde za kunyumirirwamu laavu era bakama baabwe ne babambula amayinja.
Abalala abaacamudde ennyo abantu be bakazannyirizi Maulana ne Reign, abaabadde bazannya nga bakulutu ba poliisi ne basesa abantu okujula okubaabya emitwe. Abayimbi; Harriet Ssanyu ne Shillah Nabasumba nabo basanyusizza abantu.
No Comment