Kasalabecca

Abali ku lusegere lwa Bobi Wine baamuntamya - Alien Skin

Omuyimbi Alien Skin takyawagira Bobi Wine. Ekiseera bwe kigenze kiyitawo, loodi ono azze ayogera ebigambo ebitali birungi ku Bobi Wine.

Abali ku lusegere lwa Bobi Wine baamuntamya - Alien Skin
By: Frank Lukwago, Journalists @New Vision

Omuyimbi Alien Skin takyawagira Bobi Wine. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, loodi ono azze ayogera ebigambo ebitali birungi ku Bobi Wine.

Ng'ali mu mboozi ey’akafubo gye buvuddeko, Alien yategeezezza nti takyafuna mirembe na ssuubi mu kuwagira mukulembeze w’ekibiina kya NUP nga bwe gwali.

Ono alumiriza nti mikwano gya Bobi Wine egy'oku lusegere tebaagala kumulaba ku lusegere ne Bobi Wine era tebaagala na kwogera ku pulezidenti wa NUP. 

"Abamu ku mikwano gye tebaagala mwogerako. Bamunteeka wala, era essuubi lye nnalina mu yBobi Wine ne lisebengerera kubanga, okuva ku ntandikwa, ye muntu gwe nnali ntunuulira, naye abantu abamu balowooza nti be nnannyini ye," Alien bwe yategeezezza. 

Tags:
Alien Skin
Bobi Wine