Kasalabecca

Munnayuganda ayagala kumenya likodi ya kukuba jjiiko mu nsi yonna!

Mama D, Munnayuganda ali mu kaweefube wa kumenya likodi y’ensi yonna ey’okufumba kumpi ennaku 5 nga tawumuddeemu.

Munnayuganda ayagala kumenya likodi ya kukuba jjiiko mu nsi yonna!
By: Musa Ssemwanga, Journalists @New Vision

MUNNAYUGANDA Mama D ali mu kaweefube wa kumenya likodi y’ensi yonna ey’okufumba kumpi ennaku 5 nga tawumuddeemu.

Maama D Ng'ali Mu Ffumbiro Afumba.

Maama D Ng'ali Mu Ffumbiro Afumba.

Yatandika Lwamukaaga okufumba era na kati akyafumba ng’agezaako okumenya likodi ya Alan Fisher.Ono ava mu Ireland era yafumbira essaawa 119 n’eddakiika 57 ekintu Bannayuganda kye bagamba nti ne Mama D akisobola.

Abantu abenjawulo okuli abayimbi, ba Deejay kwossa n’abakozi ba Vision Group baavuddeyo ne bamulaga obuwagizi bwabwe. Okufumba kuno kulagibwa butereevu ku mukutu gwa Urban Tv buli lunaku.

Tags:
Maama D
Kufumba
Guiness world book of records
Royco
Mmere
Likodi

Emboozi Ezifanagana