Kasalabecca

Lydia Jazmine afunye ekinyegenyege ky’okusamba gawuni

Jazmine olwavudde ku mukolo guno yalaze nga naye bw’awulira ekintu munda mu ye ekimugamba nti ke kaseera.

Lydia Jazmine afunye ekinyegenyege ky’okusamba gawuni
By: Musa Ssemwanga, Journalists @New Vision

LYDIA Jazmine y’omu ku baawerekeddeko Annatalia Ozze, omukozi wa ttivvi emu ku mbaga ye ne Wallace Kafumbe eyabaddewo omwaka oguwedde.

Jazmine olwavudde ku mukolo guno yalaze nga naye bw’awulira ekintu munda mu ye ekimugamba nti ke kaseera.

 Abasajja ab’enjawulo okuli abayimbi, abasuubuzi, abakozi b’omu ofiisi ennene bazze bagambibwa okuba nga baganza omuyimbi ono wabula ng’abeegaana.

Jazmine gye buvuddeko abadde mu Lutalo ne muyimbi munne omu omukazi nga kigambibwa nti bano ababiri balina omusajja gwe bakaayanira.

Tags:
Kasalabecca