LYDIA Jazmine y’omu ku baawerekeddeko Annatalia Ozze, omukozi wa ttivvi emu ku mbaga ye ne Wallace Kafumbe eyabaddewo omwaka oguwedde.
Jazmine olwavudde ku mukolo guno yalaze nga naye bw’awulira ekintu munda mu ye ekimugamba nti ke kaseera.
Jazmine gye buvuddeko abadde mu Lutalo ne muyimbi munne omu omukazi nga kigambibwa nti bano ababiri balina omusajja gwe bakaayanira.