REMA Namakula abamuli okumpi bagamba nti puleesa y’endongo erabika emuyinze era ali mu nteekateeka z’obulamu bwe obulala.
Kino kyatandikira ku kugaana okuzza obuggya endagaano ne maneja we Kayemba Solomon n’asalawo akolenga ne mikwano gye.
Abagaloba bagamba nti bw’anaazimaliriza, ajja kulekeraawo okuyimba mu bivvulu ebya bulijjo era essira waakulisa ennyo ku mikolo n’embaga omusinga okuva ssente.