Nameere azzizza omuliro ku bamuyeeya okuwasa 'mutabani' we
Jan 17, 2024
KWABADDE kusagambiza nga Justin Nameere ayanjula Kennedy Nsubuga mu maka ga bazadde be e Lukaya mu Kalungu.

NewVision Reporter
@NewVision
KWABADDE kusagambiza nga Justin Nameere ayanjula Kennedy Nsubuga mu maka ga bazadde be e Lukaya mu Kalungu.
Kennedy omwaka oguwedde bwe yakyala mu maka ge gamu yasuubiza bazadde ba Nameere okuddayo ng’omwaka gwakatandika era yakituukirizza.
Abantu bangi baakwatiridde ku kkubo erigenda mu bazadde ba Nameere okwerabira ku bagenyi abaabadde banyumye n’okuvuga emmotoka ez’ebbeeyi.
Nameere Ne Bba Bwe Baabadde Ku Kwanjula.
Rema Namakula ye yakulembeddemu abayimbi abaasanyusizza abagole n’abagenyi omwabade n’omugagga Godfrey Kirumira.
Omukolo olwawedde, Nameere n’agenda ku mukutu gwe ogwa ‘X’ kwe yayiye ebifaananyi ng’amema n’ekyebbeeyi kye. Abamu bakira bamuyozaayoza ng’abalala bwe bamuyeeya mbu yayanjudde ‘mutabani we’.
Wabula naye teyabalwisizza eby’obugole n’abissa ku bbali n’abaanukuza obukambwe omwabadde n’ebigambo ebirumira!
No Comment