NINCE Henry yatadde oluyimba ‘Ofunda n'e Chupa’ era abantu batandikiddewo okulwogerako nga buli omu awa endowooza ye.
Yadde nga guli gutyo, omuyimbi ono bwe yabadde alanga oluyimba luno, yakozesezza ebifaananyi by’omuntu omulala nga tamuwadde lukusa. Ng’alanga oluyimba luno, Nince yakozeseza ekifaananyi kya Pulezidenti Museveni kw’ossa n’ekya Robert Kyagulanyi.