Rema eky'okuwaana bba ku mazaalibwa akitadde ku 'level' ndala!
Jan 24, 2024
Omuyimbi Rema Namakula, maama ‘Tonyt’ asannyalaza yintaneeti olunaku lwa leero bw’ayiyeeko obubaka obwagaliza bba Hamza Ssebunnya amazaalibwa amalungi ku mikutu emigattabantu, n’alumya abataliiko babeezi.

NewVision Reporter
@NewVision
Omuyimbi Rema Namakula, maama ‘Tonyt’ asannyalaza yintaneeti olunaku lwa leero bw’ayiyeeko obubaka obwagaliza bba Hamza Ssebunnya amazaalibwa amalungi ku mikutu emigattabantu, n’alumya abataliiko babeezi.
Mu bubaka bw’atadde ku Facebook ne Instagram leero, Namakula awaanye Hamza okuba omwami ne taata wa baana asigayo obulungi, omuyitirivu ow’empisa ennungi era n’ajuliza mbu abaali bamusisinkanyeeko bakijulira.
Rema akakasizza abantu ng’omutima gwe bwe gwatereera era ne gutuuka eka, ne yeebuuza n’engeri gye yafuna omukisa okufuna omuntu nga Hamza. Asabye bba obutakyuka, asigale nga bw’ali era n’amwenyumirizaamu okuba omwami omwesigwa, amuwa emirembe ate amuwagira ne mu by’akola.
Kyokka bano abaana ba Facebook mwe bateewemulizza bamusonsonkerezza mu ‘comment section’ ne bategeeza mbu, ebigambo by’akozesezaz ng’awaana Hamza ate bye yakozesa ne ku Kenzo! Naye baana mmwe………!
Nga bw’eri enkola ye, Namakula ayiyeeko ebifaananyi ebirumya abateesi ne bba nga biraga bali mu mukwano ogw’ekimmemmette era omuyitirivu. Akateeteeyi k’abaddemu kw’obadde okomya amaaso ne weesiimisa ‘omukulu’ dakitaali okulonda ekyapa mu mannya ge.
No Comment