Maama wa Fik Fameica ayozezza ku munye ng'alabye obuwanguzi bwa mutabani we e Lugogo
Jan 28, 2024
MAAMA wa Fik Fameica atulise n'akaaba amaziga g'essanyu bw'alabye mutabani we ng'akikoze mu kivulu kye ekyabadde e Lugogo ku Cricket Oval.

NewVision Reporter
@NewVision
MAAMA wa Fik Fameica atulise n'akaaba amaziga g'essanyu bw'alabye mutabani we ng'akikoze mu kivulu kye ekyabadde e Lugogo ku Cricket Oval.
Omanyi Fik Fameica ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde yabadde mu kivvulu kye ekya Fik Fameica live in the city ekyabadde e Lugogo.
Fik Fameica Ng'ayimbira Abawagizi Be.
Ekivvulu kino kyajjumbidwa nnyo era abamu ku bantu abaabademu ye maama we. Maama we ng'ono omuwendo gw'abantu abaabaddeyo gwamwewuunyisizza era gumusanyusa ng'alaba mutabani we akikoze ate ng'olwabadde okulaba ku mutabani we essanyu ne limutta n’akulukusa amaziga g'essanyu.
Fik naye olwalabye nga nnyina akaaba n’ava ku siteegi n’alumba wansi n'okumubudaabuda era n’amugwa mu kifuba ate n’amala n’addayo ku siteegi.
Fik Fameica Ng'awa Maama We Akafuba Okumubudaabuda.
Nnyina yasigadde mu maziga era mikwano gye gye yabadde atudde nagyo ku mmeeza gye gyamukkakkanyizza olwo nno n’addamu okunyumirwa omuziki gwa mutabani we era yalabiddwako ng'azina namu.
Fik yakubye abadigize abaabaddeyo omuziki okutuusa ku ssaawa 7:00 ogw'ekiro nga yagenze okuva mu siteegi nga bamutenda.
Mu bayimbi abalala abaabadeyo okusanyusa abantu mwabaddemu Sheebah Karungi, Mike Wine, Vinka, Vyroota, Dax Vibes n'abalala.
No Comment