Kasalabecca

Saleh ne Dr Sumaya Nalumansi bakiggadde

Saleh ne Dr Sumayiyah bakiggadde

Saleh ne Dr Sumaya Nalumansi bakiggadde
By: Martin Ndijjo, Journalist @New Vision

“Nsazeewo ngenze ne Sumaya abalala kati bali ku byabwe..” bw'atyo omusuubizi, Saleh Luzinda owa Luzinda Property Masters bwe yatandise ng’ayogera ku laavu ye ne kabiite we Dr Sumaya Nalumansi.

Luzinda mutabani wa Brig. Husi Luzinda ow’omu Ndebe, ku Lwomukaaga yasitudde ebikonge ebyamuwerekeddeko e Mbarara mu maka ga bazadde ba Nalumansi gye yayanjuddwa mu bitiibwa. Oluvannyuma baakoze n’omukolo gw’okubawoowa.

Saleh eyabadde abuganye essanyu yategezezza nti abaddeko mu laavu kyokka omukwano gwa Dr Nalumansi gumusuuseko era y’ensonga lwaki bwe yamusabye okumwanjula mu bazadde naye yasitukiddemu ate mu maanyi okuweesa abazadde ekitibwa.  

Saleh Luzinda Ne Sumaya Nalumansi

Saleh Luzinda Ne Sumaya Nalumansi

Saleh Luzinda Ne Sumaya Nalumansi

Saleh Luzinda Ne Sumaya Nalumansi

Tags:
Luzinda Property Masters
Dr Sumaya

Emboozi Ezifanagana