Abavuganya ku bwa Miss ne Mr Bukedde beesunga kyapa!

Mar 20, 2024

FAYINOLO yiino kafungulankete eya Miss ne Mr Bukedde, ey’okubaawo wiikindi ejja nga March 30 e Kansanga ku Wonder World.

NewVision Reporter
@NewVision

FAYINOLO yiino kafungulankete eya Miss ne Mr Bukedde, ey’okubaawo wiikindi ejja nga March 30 e Kansanga ku Wonder World.

Kayiira, Akulira Bukedde Tv.

Kayiira, Akulira Bukedde Tv.


Akulira Bukedde TV1, Richard Kayiira agamba nti, fayinolo eno, kigenda kubeera kivvulu makunale kuba baasazeewo bajagulize wamu n’abantu, Amazuukira ga Kristu era n’abakunga okujja mu bungi bawagire abantu baabwe nga bwe banyumirwa abayimbi abalala ab’amaanyi ne bannakatemba.

Agamba nti waakusookawo okubbinkana wakati w’abavuganya okulondako abawanguzi abana era bano bwe banaamalirizia olwo ate abayimbi ab’amaanyi bakube abantu endongo kakundiiru.
Abanaawangula ku bwa Miss ne Mr Bukedde, buli omu waakufuna ekyapa ky’ettaka ne ssente 5,000,000/- ate abanaakwata ekyokubiri omuwala n’omulenzi buli omu afune 5,000,000/-.

Kayiira yeebazizza abawagidde empaka zino okuli; Njovu Estates Developers e Nansana abaawaddeyo ebyapa by’ettaka by’abawanguzi, Sumz ab’obumpwakimpwaki, Mariam Fashions e Bwaise ne Movit.

 

Fayinolo z’omulundi guno, Bukedde yeegatiddwaako Norbat Twizire owa Norbat Events okuzitegeka ng’ono yeebazizza Bukedde olw'okumuwa omukisa okutegeka ekivvulu kino.

 Abayimbi abagenda okusanyusa bantu okuliko; King Saha, Vinka, Kalore Kasiita, Gashamu Mutoni n’abalala ne bakazannyirizi okuli; MC Mariach, Mary Hearts Tumbetu ng’okuyingira kwa 20,000/- ne 50,000/-.

Wilson Ssebbaale owa Njovu Estates Developers, agamba nti beenyumiriza nnyo mu nteekateeka eno kuba etumbula ebitone. Richard Ntale owa Movit, yakunze abantu okujja mu bungi kubanga waakubaayo

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});