Sam Bagenda, abangi gwe bamanyi nga Dr Bbosa, asekeredde bulijjo abamubika era n’abayita mu muzannyo gwabwe omupya, ‘Gregarious’ bamwote buliro.
Dr Bbosa, yasangiddwa ng’anywamu ka caayi mu maka ga ba Ebonies ku Labonita gye yabadde n’ebyana nga beegezaamu.
Yabasekeredde n’abakakasa nti ku Lwakutaano, agenda kubalagako mu muzannyo ogubuulirira abavubuka okukwata obulamu bwabwe nga ekyatika.