Nnali nkooye obusambattuko mu maka gange kwe kuddukira mu Amerika - Daniella

Musasi Waffe
Journalist @Bukedde
Mar 25, 2024

Daniella Atim Mayanja, mukyala w’omuyimbi Jose Chameleon akawang’amudde bw’avuddeyo n’ategeeza ensi nga bwe giweze emyaka 5 bukya yaddukira mu Amerika okunoonya obubudamu obwalimu n’okudduka ekibambulira ky’okumutulugunya, kye yagumira okumala emyaka 16!

Chameleon Ne Daniella Lwe Baakuba Ebirayiro Byabwe.

Chameleon Ne Daniella Lwe Baakuba Ebirayiro Byabwe.

“Nze maama nze taata ku baana bange 5 be nkuza kati obw'omu”, Atim bwe yayongeddeko. Kino kyayongedde okukakasa nti ababiri bano bandiba nga baayawukana kubanga omuntu akyali omufumbo tayinza kuvaayo n'ayogera bw'atyo!.  

Yategeezezza nti newankubadde ng’emyaka gy’awezezza giringa emingi oba egimuwuubira akatambaala, , asazeewo azze buggya obulamu bw’ekivubuka nga bw’awona n’ebirowoozo. 

Bino byonna Atim yabyogeredde ku mukutu gwe ogwa Instagram gye yatadde obubaka obwo!  

Obubaka obw’ekika kino Daniella bwe yawandiise bukutte ku bantu abawerako naddala ku mukutu ogwa X (eyali Twitter) ne basigala nga banyeenya mitwe ng’embuzi etenda enkuba nga beebuuza ekyatuuka ku muyimbi waabwe Chameleon, okuba nga yamala emyaka 16 nga Daniella amulaba nga ‘kagoma’ ke kw’akuba.

Daniella Bw'afaanana Kati Ng'ali E Bulaaya.Ekifaananyi kikye ku mukutu gwa Instagram.

Daniella Bw'afaanana Kati Ng'ali E Bulaaya.Ekifaananyi kikye ku mukutu gwa Instagram.

“Nze seewuunya Daniella kugamba nti Chameleon yali amukuba kubanga omuze kirabika guli mu ffamire. Wano Weasel Yakuba mukazi n’asigala ng’ayinaayina, Pallaso yasabula Alien Skin ne wataba kikolebwa kyonna..”, omu ku bantu abaakwatiddwako ku mukutu ogwa X (eyali twitter) bwe yawandiise. 

Kinnajjukirwa nti mu 2019, amawulire gaasaasaana nti omuyimbi yali aguze amaka amapya e Minnesota mu Amerika era n’akwata ffamire yonna n’agisenguliza eyo.

Chameleon Bw'afaanana Kati.

Chameleon Bw'afaanana Kati.

Ono yategeeza nti ekyamukozesa ekyo kwe kuba nti abaana be ababiri, Alpha ne Abba, baali bafunye sikaala ez’okusomera ku bwereere mu Amerika. 

Wano we wava kanzunzu ku kiki ekituufu ekyaliwo kuba okusinziira ku bigambo bya Daniella, alaga nti abaana abaliko yekka era ekyamuggya mu Uganda kwali kwetegula kibambulira kya kumufuula kagoma okumala emyaka 16 ng’asirise!

Bino we bijjidde nga Bukedde yaakafulumya eggulire ku ; Chameleon eriraga nti endabika ye yeeraliikiriza era ng'abawagize be beebuuza ekituufu ekimumazeewo

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});