Nambooze alaze obugonvu eri Bobi Wine bw'amuleetedde enkota y 'ettooke ne kimeeme w'embuzi

Lawrence Kitatta
Journalist @Bukedde
May 13, 2024

OMUBAKA wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze ayongedde okulaga amaanyi n’okwongera okunoonya obuganzi mu NUP bwasitude abakulembeze okuva mu greater Mukono naabaleeta ewa Bobi Wine okwongra okulaga nti akyali ku mulamwa gwa NUP.
Ono aleese embuzi n’enkota y'ettooke eyakula n'enwola ng’ali wamu ne bakulembeze banne ne bagikwasa Bobi Wine ng’akabonero okumulaga obuwulize n'obugonvu eri NUP.
Nambooze ategeezezza Bobi Wine nti ensi yonna ne bwenamukyawa bannamukono bo balisigla bamuwangira kuba enkola ze zitambulira nnyo kw'ebyo abantu be Mukono byebayaayanira okutuukako mu bulamu obwabulijjo.

Beety Nmabooze ng'ali ku Kitebe kya NUP

Beety Nmabooze ng'ali ku Kitebe kya NUP


Kyagulanyi yebazizza bannamukono okuvaayo ne bayimirira kitole ku mazima era n’abasaba okutambulira awo n'obutaggwamu maanyi.
Kyagulanyi agumizza bannayuganda abali mu kwewandiisa okuyingira ekibiina okwetoloola eggwanga nti ebifo kaadi gye zaawedde bali mu kawefube ow'okukubisa kaadi endala era akadde konna bagenda kuba bazifulumya okubatuukako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});