Ababadde bateeze abatuuze abava mu lumbe okubanyaga poliisi ebakutte

Stuart Yiga
Journalist @Bukedde
May 16, 2024

Poliisi ekutte abasajja ab’omutawaana babiri ababadde bateega abatuuze ne bababba mu bitundu by’e Nabweru, ne Nansana.
Abdu Ssebyuma, 34, nga mutuuze w’e Kazo-Muganzirwazza wabula nga nzaalwa y’e Lwanume-Kyamuliibwa, Masaka ye yakwattiddwa ne Ronald Nyakana, 34, be baakukunuddwa mu kazigo mwe babadde bapangisa nga webasinziira ne bategeega abantu ne bababba nga beeyambisa ebiso, emitayimbwa ne nnyondo.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza Bukedde, nti bano baabakutte ku Lwokusatu nga May, 15, 2024, nga kyaddiridde okufuna amawulire nti baateeze abatuuze abaabadde bava okusula mu lumbe lwa mutuuze munnaabwe mu bitundu by’e Kazo-Muganzirwazza ne bababba obutabalekera kantu.

Ebimu ku bissi bye baabasanze nabyo.

Ebimu ku bissi bye baabasanze nabyo.


Kigambibwa nti abamu ku batuuze abaasimattuse okubbibwa baalondodde abasajja bano okutuusa lwe baagudde ku kazigo we basula nebatemya ku b’akakiiko abaakolaganye ne Poliisi ne bakwatibwa.
Poliisi yayazizza mu kazigo mwe baabasanze ne basangamu ejjambiya bbiri, emisokoto gy’enjaga, wamu n’enkofiira eyeefaanaanyiriza langi z’amagye.
Poliisi wano weyasinzidde n’esaba abatuuze okwongera okuba abakalabakalaba basobole okubategeeza abo bonna be basuubiriza okuba abamenyi b’amateeka bakwatibwe era bavunaanibwe mu kkooti.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});