OBADDE okimanyi nti Akram Gumisiriza, bba wa Dokita Kulthum Nabunnya yayiseemu dda kati ali mu Amerika?
Ono yalabiddwaako mu bifaananyi ne Maggie Kayima amanyiddwa nga Nabbi Omukazi era waliwo abaatandise okugasomera mu bbaasa nti yandiba nga tajja kudda mangu Uganda.
Akram yawasa Kulthum mu 2022, naye ng'obufombo bwonna bwe buba, nabo babaddemu n'ebisirikko.