Kasalabecca

Vinka agenda kuzza ku mwana???????

VINKA, yeesaze akateeteeyi ku kivvulu ekyabadde e Munyonyo ne kamumiima ebisooka n’ebisembayo, n’alekera abawagizi ebibuuzo.

Vinka agenda kuzza ku mwana???????
By: Musa Ssemwanga, Journalists @New Vision

VINKA, yeesaze akateeteeyi ku kivvulu ekyabadde e Munyonyo ne kamumiima ebisooka n’ebisembayo, n’alekera abawagizi ebibuuzo.

Kaabadde kampi ebisoboka, ne kapinduula olubuto era abamu ne batandika okubitebya nti ali ttu (ntegeeza okubeera olubuto ate olw’omwana).

 

Wano abalala we baatandikidde okwewuunaganya nti naye Vinka tayanguye kuzza ku mwana? Ko abalala nti era ebbanga lyeryo. Ate bandi, baabiyiyeemu amazzi, nti oba akusse bukussi anti aba Swangz be baategese ekivvulu.

Oba kati ffe tulinde baby shower?

Tags:
Bukedde Ssanyu
Kasalabecca
Bassereebu

Emboozi Ezifanagana