OMUYIMBI Grenade Official (Deus Ndugwa) eyayimba ‘Bw’ong'aana nkuloga’, abantu abasinga ne balowooza nti asobola okukola buli kimu ku lw’omukwano.
Kati kirabika g’akaaba g’akomba, oluvannyuma lw’okufunamu obutakkaanya ne muninkini we MJ Sonia, bulijjo gwe bapepeya naye.
Kati tebakyabeera bombi era kigambibwa MJ yagenda Dubai agatte obulamu. Grenade, ateeka obubaka obukolima ku mutimbagano era obukyasembyeyo yayogedde ku ky’abaagalana obuteesiba nnyo ku bantu nga bakooye.