Namulindwa eyali owa Bukedde akomyewo mu kayisanyo k'ebyobufuzi
Jan 23, 2025
MWANNAMUWALA Mary Flavia Namulindwa, eggwanga aliyingidde ‘kimafiya’ ne yeewuunyisa abantu.
By Musa Ssemwanga
Journalist @New Vision
MWANNAMUWALA Mary Flavia Namulindwa, eggwanga aliyingidde ‘kimafiya’ ne yeewuunyisa abantu.
Flavia, eyali omuweereza ku Bukedde TV n’agenda mu Amerika, amazeeyo emyaka egiwera era agenze okudda nga mu Amerika yafunayo omusajja n’azaala n’abaana.
Namulindwa Eyakomyewo Bw'afaanana.
Nga tannagenda Amerika, Flavia yali atera okwesolossezza mu byobufuzi era waliwo abagasomera mu bbaasa nti oba osanga kye yavudde akomawo okutuukiriza ekirooto kye anti tugenda mu kadde ka kunoonya bululu nga n’akalulu tugenda kukakuba omwaka ogujja.
Ate abalala ne bategeeza nti akomyewo alambule ku pulojekiti ze bulijjo z’ateekamu ensimbi okuli eddwaaliro ly’azimba mu disitulikiti y’e Gomba gye yali ayagala okwesimba ku bubaka bwa Palamenti.
Waliwo n’ababitebya nti alinamu n’ekirowoozo ky’okuddamu okuweereza ku ttivvi.
No Comment