Kasalabecca

Apass akukunuddeyo ensuusuuti z'e Kampala mu kivvulu kye

Omuyimbi APass yasitudde ensuusuuti z’e Kampala ne zeeyiwa mu kivvulu kye ku Serena. A Pass eyategese ekivvulu kye ekyasoose bukya ayingira ensiike y’okuyimba, mu njogera ennyangu oyinza okugamba nti abawagizi be abadde ababuzeeko nnyo.

Apass akukunuddeyo ensuusuuti z'e Kampala mu kivvulu kye
By: Ignatius Kamya, Journalist @New Vision

Omuyimbi APass yasitudde ensuusuuti z’e Kampala ne zeeyiwa mu kivvulu kye ku Serena. A Pass eyategese ekivvulu kye ekyasoose bukya ayingira ensiike y’okuyimba, mu njogera ennyangu oyinza okugamba nti abawagizi be abadde ababuzeeko nnyo.

Ono Bw'ati Bwe Yalabise Mu Kivvulu.

Ono Bw'ati Bwe Yalabise Mu Kivvulu.

Ekivvulu kino ekyabaddewo ku Lwokutaano, kyajjumbiddwa nnyo byanabiwala ebinyirira era bakira buli wookuba eriiso mu kivvulu, ng’olaba mwana muwala atukula okuzaama abamu ne batandika okwebuuza gye babeera emisana gye batabalabira.

A Pass (ng’amannya ge amatuufu ye Alexander Bagonza), olwalinnye ku siteegi, gaabadde masanyu gokka mu ngeri ennyimba ze gye zaakutte abantu omubabiro ate ng’abalala banyumirwa bwambalo bwe yeesaze.

Apass Bwe Yalabise Ku Siteegi

Apass Bwe Yalabise Ku Siteegi

Ennyimba nga Chupa ku Chupa, Turn up Da Vibe, Wuuyo, Didadada n’endala zaacamudde abadigize ne basituka mu ntebe okubiibyamu.

Okwawukanako ku bayimbi abalala abategeka ebivvulu ne bawerekerwako abayimbi bannaabwe mu bungi, ono ekivvulu kye kwayimbyeko abayimbi babiri bokka okuli; Lillian Mbabazi ne Likkle Bangi be yakolako nabo ennyimba.

APass yaleese omukugu mu bya saawundi okuva e Switzerland okulaba nga buli kimu kya mutindo era buli eyabadde mu kivvulu yagenze okufuluma ng’atenda ntegeka nnungi.

Tags:
Kasalabecca
Apass
Kampala
Kivvulu