🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Kasalabecca

Mmaze emyaka 11 nga soogera na mmange - Iryn Namubiru

Omuyimbi Iryn Namubiru avuddeyo n'ayogera ku nsonga ezaamwawukanya ne nnyina ng'alumiriza nti y'omu ku baalina omukono ku by'okumukwatira e Japan ku by'enjaga

Mmaze emyaka 11 nga soogera na mmange - Iryn Namubiru
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

ENNAKU zino, omuyimbi Iryn Namubiru mukaawu. 

Okusinziira ku butambi obuyiting'ana ku mikutu gya yintaneeti, yeekokkola nnyina okubeera mu lukwe, lw’okumusiba enjaga eyamukwasa e Japan. 

Mu 2013, Iryn Namubiru baamukwatira ku kisaawe e Japan, gye yali agenze okuyimba oluvannyuma lw’okusangibwa n’enjaga mu mugugu gwe, eyali ebalirirwamu akawumbi mu nsimbi za wano. 

Kumpi yamala omwezi mulamba nga bamwekebejja mu Japan wabula yateebwa ng’okunoonyereza kwalaga nti yali talina ky’agimanyiiko. 

Nga kati wayise emyaka nga 11, Iryn agamba nti abantu abaamuli okumpi okuli nnyina ne maneja we, be baalina omukono mu kumusiba enjaga wadde nga bwe baamukwata, beefuula abatalina kye babimanyiiko. 

Okuva olwo, Iryn azze agugulana ne nnyina era ne maneja we Thadeus Mubiru yamugoba. Mu mbeera eno, Iryn agamba nti ffamire ye eringa eyali eyagala afe nti era ye amaze emyaka 11, nga teboogerezeganya na nnyina.

Tags:
Kasalabecca
Maama
Iryn Namubiru
Muyimbi
Japan
Mmazzi
Lyato